Matthew 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Laba, omuwala embeerera anaaba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; erinnya lye balimuyita Emmanweli,” ekivvuunulwa nti: 'Katonda ali naffe'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto,” “ ‘era alizaala omwana wa bulenzi, erinnya lye aliyitibwa Emmanweri; eritegeeza nti Katonda ali naffe.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Erinnya lye, balimuyita Emmanweli” (eritegeeza nti: “Katonda ali naffe”).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe.