Matthew 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku myoyo emigwagwa, bagigobe era bawonye buli bulwadde na buli buyongobevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, ne bajja gy’ali n’abawa obuyinza okugobanga baddayimooni, n’okuwonyanga buli ndwadde n’okukozimba ebya buli ngeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12), n'abawa obuyinza ku myoyo emibi, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abawa obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu, n'okuwonyanga abantu endwadde zonna n'obuyongobevu bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna.