Matthew 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyumba eyo bw'eneebanga esaanidde, omukisa gwammwe gugijjengako; naye bw'eneebanga tesaanidde, omukisa gwammwe gubaddirenga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abali mu nju eyo bw'ebanaasaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku bo; naye bw'ebataasaanenga, emirembe gyammwe giddenga gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa abantu ab'omu nnyumba eyo babaaniriza, emirembe gye mubaagalizza girisigala nabo. Naye bwe batalibaaniriza, emirembe gye mubaagalizza giridda gye muli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enju bw'esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo: naye bw'etasaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli.