Matthew 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yenna ataabaanirize oba okukkiriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu nnyumba eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu y'ebigere byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu ey’oku bigere byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe, bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa bagaana okubaaniriza mu nnyumba oba mu kibuga, bwe mubanga muvaayo, mwekunkumulangako n'enfuufu eba ebakutte ku bigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe.