Matthew 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka mbabuulire, ekirituukirira ensi y'e Sodoma n'ey'e Gomorra ku lunaku olw'okulamulibwa kiriba kigumiikirizika okusinga ekirituukirira ekibuga ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olw’okusalirako omusango ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okusinga ekibuga ekyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, ensi y'e Sodoma ne Gomora eriddirwamu okusinga ekibuga ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddala mbagamba nti ensi ya Sodoma ne Ggomola eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira ekibuga ekyo.