Matthew 10:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wuuno nze mbatumye kyenkana ng'endiga mu misege wakati; awo nno mubeere balabufu ng'emisota, ate nga temuliiko kibavunaanibwa ng'enjiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba mbatuma ng’endiga mu misege. Noolwekyo mubeere bagezigezi ng’emisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, nze mbatuma nga muli ng'endiga wakati mu misege; kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwekkaanye: nze mbatuma nga muli ng'endiga mu misege wakati. Kale nno mube beegendereza ng'emisota, era mube ng'amayiba obutaba na bukuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, nze mbatuma ng'endiga wakati mu misege: kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa.