Matthew 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe babawangayo, temweraliikiriranga bwe munaayogera oba kye munaagamba; kye munaayogeranga kiribaweebwanga mu kabanga ako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaayogera tutya? Oba nti Tunaayogera ki? Kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe babakwatanga ne babawaayo, temweraliikiriranga nti: Tunaayogera tutya, oba nti: Tunaayogera ki? Muliweebwa mu kaseera ako, kye mulyogera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaagamba tutya? nti Tunaayogera ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera.