Matthew 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amannya g'Abatume ekkumi n'ababiri ge gano: Omubereberye Simoni, ayitibwa Petero, ne Andureya muganda we; Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amannya g’abayigirizwa ekkumi n’ababiri ge gano: Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero; ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abatume abo ekkumi n'ababiri (12), amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amannya g'abatume ekkumi n'ababiri ge gano: omubereberye, Simooni Peetero, ne Andereya muganda we; ne Yakobo, ne muganda we Yowanne, batabani ba Zebedaayo;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abatume abo ekkumi n'ababiri, amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we;