Matthew 10:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ow'oluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana omwana we; abaana balisitukira mu babazaala ne babawaayo battibwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era n’abazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'oluganda anaawangayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we; n'abaana banaajeemeranga ababazaala, ne babawaayo okuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera abazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'oluganda anaawangayo muganda we okufa, ne kitaawe omwana: n’abaana banaajeemeranga ababazaala, n’okubassa.