Matthew 10:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulikyayibwa mwenna olw'okubeera erinnya lyange. Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero, y'alirokoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munnaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange; naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe, abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Kyokka oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka.