Matthew 10:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala. Kubanga nze mbagambira ddala nti temulibuna byalo bya nsi ya Yisirayeli ng'Omwana w'Omuntu tannajja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana w’Omuntu n’ajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe babagobanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu ky'okubiri; kubanga ddala mbagamba nti, Temulibunya bibuga bya Isiraeri byonna, nga Omwana w'omuntu tannajja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala. Mazima mbagamba nti: temulimalayo bibuga bya Yisirayeli nga Omwana w'Omuntu tannajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe babagobanga mu kibuga ekyo, muddukira mu ky'okubiri: kubanga ddala mbagamba nti Temulibunya bibuga bya Isiraeri, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alijja.