Matthew 10:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kimala kasita omuyigirizwa abeera ng'omuyigiriza we, n'omuweereza nga mukama we. Kale obanga nnannyinimu bamuyise Beelizebuli, tebaasinzeewo bye banaayita ab'omu maka ge?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayigirizibwa kimumala okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo okuyita abo abali mu nju ye?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayigirizibwa kimumala okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga nnannyinimu bamuyise Beeluzebuli, ab'omu maka ge kiki kye batalibayita!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kimumala omuyigirizwa okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo abo abali mu nju ye?