Matthew 10:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno temubatya; kubanga tewali kibikkiddwa kitalibikkulibwa; tewali kikisiddwa kitalimanyibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale temubatyanga; kubanga tewali kigambo ekyabikkibwa, ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno temubatyanga, kubanga buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale temubatyanga: kubanga tewali kigambo ekyabikibwa, ekitalibikkulwa, newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa.