Matthew 10:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temutyanga abo abatta omubiri obubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo; wabula mutyenga oyo asobola okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu Geyenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo; naye mumutyenga oyo ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu Ggeyeena.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era temutyanga abo abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo. Naye mutyenga Katonda ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu muliro ogutazikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n'omubiri mu Ggeyeena.