Matthew 10:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale enkazaluggya ebbiri tezitundibwa ssente emu? Sso ku ezo tewali egwa ku ttaka nga Kitammwe tayagadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? Naye tewaliba n'emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tayagadde;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Enkazaluggya bbiri tezigula ssente emu? Naye tewali n'emu ku zo egwa ku ttaka nga Kitammwe tayagadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? era tewaliba n'emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: