Matthew 10:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asanga obulamu bwe, alibubuza, naye oli abubuza okubeera nze, alibusanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alaba obulamu bwe alibubuza; n'oyo abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agezaako okutaasa obulamu bwe, alibufiirwa. Afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alaba obulamu bwe alibubuza; abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.