Matthew 10:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayaniriza omulanzi kubanga mulanzi, alifuna ku mpeera y'obulanzi; n'oli ayaniriza omutuukirivu olw'obutuukirivu bwe, alifuna ku mpeera ey'omutuukirivu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo asembeza nnabbi mu linnya lya nnabbi, alifuna empeera y’emu nga nnabbi. Era buli anaasembezanga omuntu omutuukirivu mu linnya ly’omuntu omutuukirivu, alifuna empeera y’emu ng’ey’omutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akkiriza nnabbi olw'okuba nga nnabbi aliweebwa empeera ng'eya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu olw'okuba mutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayaniriza omulanzi olw'okuba nga mulanzi, alifuna empeera ng'ey'omulanzi. Era ayaniriza omuntu akola Katonda by'ayagala, olw'okuba ng'akola Katonda by'ayagala, alifuna empeera ng'ey'omuntu akola Katonda by'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akkiriza nnabbi mu linnya lya nnabbi aliweebwa empeera ya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu mu linnya ly'omutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu.