Matthew 10:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
na buli omu aliwa omu ku bato abo ekikopo ky'amazzi amannyogovu ku lw'okuba nti muyigirizwa, mazima ka mbabuulire, talibulwa mpeera ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi y’amazzi agannyogoga olw’erinnya ly’omuyigiriza talirema kuweebwa mpeera ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli awa omu ku bano abato ekikompe ky'amazzi amannyogovu okunywa, olw'okuba nga muyigirizwa wange, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n'akatono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti: buli awa omu ku bano abato eggiraasi y'amazzi obuzzi amannyogovu okunywa, olw'okuba nga muyigirizwa wange, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli amuwa okunywa omu ku abo abatono ekikompe ky'amazzi amannyogovu kyokka, mu linnya ly'omuyigirizwa, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n'akatono.