Matthew 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekkumi n'ababiri bano Yezu yabatuma, n'abalagira nti: “Temukwata makubo gagenda mu b'amawanga, temuyingira mu bibuga bya Basamariya;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo ekkumi n’ababiri Yesu n’abatuma ng’abalagira nti: “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga ky’Abasamaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri (12) n'ababuulirira, ng'agamba nti, “Temugenda mu b'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ekkumi n'ababiri Yesu n'abatuma, n'abakuutira ng'abagamba nti: “Temugenda mu b'amawanga amalala, era temuyingira mu bibuga bya Basamariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri n'ababuulirira, ng'agamba nti Temugendanga mu makubo g'ab'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya;