Matthew 11:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu bwe yamala okukuutira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo, n'agenda okusomesa n'okuyigiriza mu bibuga byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’avaayo n’agenda okubuulira n’okuyigiriza mu bibuga byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yesu bwe yamaliriza okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12), n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Yesu bwe yamaliriza by'alagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'ava mu kifo ekyo, n'agenda okuyigiriza n'okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu bibuga byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.