Matthew 11:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye wuuyo eyawandiikibwako nti: “ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, anaakutegekera ekkubo lyo mu maaso go.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti, “ ‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere, alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Oyo ye yawandiikibwako nti,” “ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go. ’ ” “ ‘Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Yowanne ono, ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba, nze ntuma omubaka wange akukulembere, ng'akwerulira ekkubo gy'olaga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo ye yawandiikwako nti Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.