Matthew 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu biro bya Yowanna Batista okutuusa kati, obwakabaka obw'omu ggulu bukwasiddwa na lyanyi, era ab'eryanyi babutwala na lyanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza n’okutuusa kaakano, obwakabaka obw’omu ggulu buyingirwa n’amaanyi, era abantu ab’amaanyi ennyo be babutwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okutuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'ababuwaguza babunyaga lwa maanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Okuva Yowanne Omubatiza lwe yajja, okutuusa kati, Obwakabaka obw'omu ggulu bulwanyisibwa n'amaanyi, era ab'amaanyi babunyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okuuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'abawaguza babunyaga lwa maanyi.