Matthew 11:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye ezzadde lino nnaaligeranya ku ki? Liri ng'abaana abato abatudde mu mbuga abalaamiriza bali abalala nga bagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye emirembe gino nnaagifaananya ki? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu ab'omulembe guno nnaabageraageranya na ki? Bafaanana ng'abaana abato abatuula mu katale, ne bakoowoola bannaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nnaafaananya ki emirembe gino? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe,