Matthew 11:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana w'Omuntu n'ajja ng'alya era ng'anywa, ne bagamba nti: ‘Mulabe omuntu ono, wa mulugube, mutamiivu, mukwano gwa basolooza b'omusolo n'aboonoonyi!’ Kyokka amagezi ebikolwa byago bye bigejjeereza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti, ‘Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi!’ Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa byago.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne bagamba nti: ‘Omuntu ono wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’ Wabula abo bonna abakolera ku magezi ga Katonda, bakakasa nti matuufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! Era amagezi gaweebwa obuuukirivu olw'ebikolwa byago.