Matthew 11:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zikusanze ggwe Korazini! Zikusanze ggwe Betisayida! Kubanga ebikolwa eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne mu Sidoni, singa baabonerera dda mu bikutiya ne mu vvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Zirikusanga ggwe Kolaziini! Zirikusanga ggwe Besusayida! Kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oli wa kubonaabona ggwe Koraziini! Ennaku za kukulaba ggwe Betusayida! Ebyamagero ebyakolerwa mu mmwe, singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne Sidoni, abantu baayo bandibadde baayambala dda ebikutiya, ne beesiiga n'evvu, okulaga nti beenenyezza
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zirikusanga ggwe Kolaziini! zirikusanga ggwe Besusayida! kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu.