Matthew 11:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mbagamba nti ekirituukirira ensi ya Tiiro ne Sidoni ku lunaku olw'okulamulibwa, kiriba kigumiikirizika okusinga ekiribatuukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, Tiiro ne Sidoni biribonerezebwa katono okusinga mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe.