Matthew 11:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna Taata yabinkwasa; tewali amanyi Mwana wabula Taata; ne Taata tewali amumanyi, wabula Mwana n'oyo Mwana gw'aba ayagadde okumumanyisaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu byonna byankwasibwa Kitange; so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumumubikkulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kitange byonna yabimpa, ate nze Mwana tewali ammanyi okuggyako Kitange, era tewali amanyi Kitange okuggyako nze Mwana, n'oyo gwe mba njagadde amanye Kitange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumubikkulira.