Matthew 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bwe baali bagenda, Yezu n'asooka okugamba abantu ku Yowanna nti: “Mwagenda mu ddungu kulaba ki? Olumuli oluyuuyuzibwa empewo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu n’ategeeza abantu ebya Yokaana nti, “Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo bwe baagenda, Yesu n'atandika okwogera n'ebibiina ku Yokaana nti, “Kiki kye mwagenderera mu ddungu okutunuulira? Olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bwe baagenda, Yesu n'atandika okutegeeza abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo bwe baagenda, Yesu n'asooka okwogera n’ebibiina ku Yokaana nti Kiki kye nwagenderera mu ddungu okutunuulira? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?