Matthew 12:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N'agugolola; ne guddirawo ddala, gwonna omulamba ng'omulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alyoka agamba omuntu oyo nti, “Golola omukono gwo.” N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogwokubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba omuntu oyo nti: “Omukono gwo gugolole.” N'agugolola, ne guwonera ddala, ne guba ng'omulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka agamba omuntu oyo nti Golola omukono gwo. N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogw'okubiri.