Matthew 12:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wuuno omuweereza wange gwe nalonda, omwagalwa wange, omwoyo gwange gwe gwesiimiramu. Ndimussaako Mwoyo wange, alibuulira amawanga obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera, gwe njagala ennyo asanyusa emmeeme yange. Ndimuteekako Omwoyo wange era Alisalira amawanga gonna emisango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba omuweereza wange gwe nnalondamu; Gwe njagala, asanyusa emmeeme yange. Ndimuteekako Omwoyo gwange, Alibuulira amawanga eby'obwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ono ye muweereza wange gwe nalondamu, gwe njagala, asanyusa omutima gwange. Ndimuteekako Mwoyo wange, n'ategeeza amawanga eby'amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba mulenzi wange gwe nnalondamu; Gwe njagala, ansanyusa emmeeme yange: Ndimuteekako Omwoyo gwange, Alibuulira amawanga omusango.