Matthew 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafarisaayo bwe baabalaba, ne bamugamba nti: “Laba, abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukola ku Sabbaato.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti, “Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo ekitakkirizibwa kukolerwa ku ssabbiiti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafarisaayo abamu bwe baalaba ekyo, ne bagamba Yesu nti: “Laba, abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Sabbaato!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo okukolera ku ssabbiiti.