Matthew 12:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bamuleetera omuntu akwatiddwa omwoyo omubi, nga muzibe wa maaso ate nga kasiru, n'amuwonya, kasiru n'asobola okwogera n'okulaba n'alaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baleetera Yesu omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa, n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera, era n'alaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne baleetera Yesu omuntu aliko omwoyo omubi, nga muzibe era nga kasiru, n'amuwonya. N'asobola okwogera n'okulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamuleetera omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa: n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera n'alaba.