Matthew 12:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abafarisaayo bwe baakiwulira, ne bagamba nti: “Ono emyoyo emibi tagigoba ku bwa mulala, okuggyako Beelizebuli, omukulu w'emyoyo emibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti, “Oyo tagoba dayimooni, nga akozesa obuyinza obulala bwonna wabula obwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abafarisaayo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ono agoba emyoyo emibi ku bantu, nga takozesa buyinza bwa mulala, wabula obwa Beeluzebuli, omukulu waagyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti Oyo tagoba dayimooni, wabula ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.