Matthew 12:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti: “Buli bwakabaka obwetemamu bwa kuzikirira; tewali kibuga oba ennyumba ebyetemamu bijja kunywera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti, “Buli bwakabaka bwe bwawukanamu bwokka na bwokka buzikirira; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka erisasika;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Era ne bwe kiba kibuga oba maka, abantu baamu bwe beesalamu ne balwanagana, bisasika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti Buli bwakabaka bwe bwawukana bwokka na bwokka buzika; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka terirwawo: