Matthew 12:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba Sitaani agoba Sitaani, awo nno yeetemyemu; obwakabaka bwe bunaanywera butya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Setaani bw’agoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Setaani bw'agoba Setaani aba ayawukanye yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulisigalawo butya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne Sitaani bw'agoba Sitaani ku bantu, aba yeesazeemu. Kale obwakabaka bwe bunaasigalawo butya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Setaani bw'agoba Setaani ayawukana yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulirwawo butya?