Matthew 12:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba nze ngoba emyoyo emibi ku bwa Beelizebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Olwekyo kyebaliva babeera abalamuzi bammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bw’ani? Noolwekyo be bali basalira omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Kale abo be balibasalira omusango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oba nga nze ngoba emyoyo emibi ku bantu nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli, abagoberezi bammwe bo bagigoba nga bakozesa buyinza bw'ani? Kale nno bo be bajja okubasalira mmwe omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kale abo be balibasalira omusango.