Matthew 12:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi n'anyaga ebibye, wabula ng'asoose okusiba ow'amaanyi? Olwo anaasobola okunyagulula ennyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omuntu ow’amaanyi, n’amunyagako ebintu bye okuggyako ng’asooka okusiba ow’amaanyi oyo? Olwo n’alyoka anyaga ebintu bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? N'alyoka anyaga enju ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi n'okunyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kusiba ow'amaanyi oyo? Olwo lw'asobola okunyaga eby'omu nnyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? n'alyoka anyaga enju ye.