Matthew 12:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w'Omuntu, kirimusonyiyibwa, naye alyogera ku Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa, kibeere mu mirembe gino oba mu mirembe egirijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w'Omuntu, alisonyiyibwa. Kyokka oyo ayogera obubi ku Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa newaakubadde mu mulembe guno, wadde mu mulembe ogugenda okujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.