Matthew 12:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omulungi, ku birungi by'aterese kw'atoola ebirungi. N'omuntu omubi, ku bibi by'aterese kw'atoola ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu tterekero lye eddungi, era n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu tterekero lye ebbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi, n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omulungi, aggya ku birungi ebiri mu mutima gwe okukola ebirungi; n'omuntu omubi, aggya ku bibi ebiri mu mutima gwe okukola ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi: n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi.