Matthew 12:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga olyejjeerezebwa okusinziira ku bigambo byo, oba olisalirwa omusango okukusinga okusinziira ku bigambo byo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinzisa omusango.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ku bigambo byo kw'olisalirwa omusango: n'osinga, oba ne gukusalirwa okukusinga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinza omusango.