Matthew 12:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abamu ku bawandiisi ne ku Bafarisaayo ne bamuddamu nga bagamba nti: “Muyigiriza, twagala okulaba akabonero okuva gy'oli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza twagala otulage akabonero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti, “Omuyigiriza, twagala tulabe akabonero akava gyoli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abamu ku bannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, twagala okulaba akabonero k'otuwa, akakakasa obuyinza bwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti Omuyigiriza, twagala otulage akabonero tukalabe.