Matthew 12:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abaddamu nti: “Ezzadde ebbi era esseegu lisaba akabonero; naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula akabonero ka Yona omulanzi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’abaddamu nti, “Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu, n'addamu n'abagamba nti, “Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Abantu b'omulembe guno ababi, abava ku Katonda, basaba akabonero. Naye tewali kabonero kajja kubaweebwa, okuggyako akabonero ka Yona omulanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'addamu n'abagamba nti Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero: so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona: