Matthew 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya Emigaati egy'Okwolesebwa egyali gimuzira okulya, ye n'abaali naye, wabula bakabona bokka?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy'omuzizo ye okugirya, newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yayingira mu Ssinzizo, n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda, sso nga gyali tegimukkirizibwa, wadde abo be yali nabo, okugirya, wabula nga gikkirizibwa bakabona bokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy’omuzizo ye okugirya newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka?