Matthew 12:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga nga Yona bwe yabeera mu lubuto lw'ekyennyanja ekinene ennaku essatu n'ebiro bisatu, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba atyo wansi mu ttaka ennaku essatu n'ebiro ebisatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu (3), emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kuba nga Yona bwe yabeera mu lubuto lw'ekyennyanja ennaku essatu, ekiro n'emisana, bw'atyo n'Omwana w'Omuntu bw'aliba mu ttaka munda ennaku ssatu, ekiro n'emisana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka.