Matthew 12:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ab'e Nineve ku kulamulibwa balisituka ne basalira ezzadde lino omusango okulisinga, kubanga bo baabonerera nga Yona ababuulidde; sso nga wano waliwo asinga Yona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona. Naye laba asinga Yona ali wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinzisa omusango; kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu b'e Nineeve balisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, ne babalumiriza omusango okubasinga. Kubanga bo beenenya nga Yona abategeezezza ekigambo kya Katonda. Naye laba, asinga Yona ali wano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ab'e Nnineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinza omusango: kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano.