Matthew 12:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnaabakyala ow'emaserengeta ku kulamulibwa alisituka wamu n'abantu b'ezzadde lino, n'abasalira omusango okubasinga, kubanga yava ku nkingi z'ensi okuwulira amagezi ga Solomoni, sso nga wano waliwo akira Solomoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinzisa omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo alisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, n'abalumiriza omusango okubasinga. Kubanga yava ku nkomerero y'ensi, n'ajja okuwuliriza ebigambo bya Solomooni eby'amagezi. Naye laba, asinga Solomooni ali wano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka omukazi ow'omu bukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinza omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.