Matthew 12:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwoyo omugwagwa bwe guva mu muntu, gutambulatambula mu bifo ebikalukalu, nga gunoonya we gunaawummulira, naye ne gubulwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye omwoyo omubi bwava ku muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omwoyo omubi bwe guva ku muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi, nga gunoonya we gunaawummulira, ne gutazuulawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye dayimooni omubi bw'ava mu muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa.