Matthew 12:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne gugenda guleeta emyoyo emirala musanvu egigukira obubi, ne giyingira ne gisula omwo. Awo embeera y'omuntu ey'oluvannyuma n'eba mbi okukira ey'olubereberye. Bwe kityo bwe kiriba ne ku zzadde lino ebbi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo n’abeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba n’omulembe guno omwonoonefu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo; n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri abantu ab'emirembe gino emibi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ne gugenda ne guleeta emyoyo emibi emirala musanvu egigusinga obubi, ne giyingira ne gibeera omwo. Embeera y'omuntu oyo ey'oluvannyuma n'eba mbi okusinga eyasooka. Bwe kityo bwe kiriba ne ku bantu ab'omulembe guno omubi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo: n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri ab'emirembe gino emibi.