Matthew 12:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyayogera eri ebibiina, nnyina ne baganda be ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde ebweru, nga baagala kwogera naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yali akyayogera n'ekibiina ky'abantu, baganda be ne nnyina ne bajja, ne bayimirira wabweru, nga baagala okwogera naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde bweru, nga baagala kwogera naye.