Matthew 12:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyali amugambye n'amwanukula nti: “Mmange ate ye ani, ne baganda bange be baani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti, “Ani mmange? Era be baani baganda bange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu oyo amubuulidde, n'agamba nti: “Aba muntu wa ngeri ki gwe mpita mmange, era baba bantu ba ngeri ki be mpita baganda bange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti Ani mmange? be baani baganda bange?